Proverbs 22

Omugaso gw’Erinnya Eddungi

1 aErinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.

2 bAbagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.

3 cOmuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.

4Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.

5 dAmaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.

6 eManyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
ne bw’alikula talirivaamu.

7Omugagga afuga abaavu,
naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.

8 fAsiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.

9 gOmuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
kubanga emmere ye agirya n’abaavu.

10 hGoba omunyoomi, entalo zinaagenda,
ennyombo n’okuvumagana binaakoma.

11 iOmuntu eyeegomba omutima omulongoofu
era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.

12Amaaso ga Mukama galabirira amazima,
era adibya entegeka z’abatali beesigwa.

13 jOmugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”

14 kMalaaya mutego gwa kabi,
akolimiddwa Mukama mw’afiira.

15 lObusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.

16Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,
n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.

17 mOssangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi,
n’omutima gwo eri ebyo bye njigiriza.
18Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo,
n’oba mwetegefu okubiddamu byonna.
19Mbikumanyisa leero ggwe,
obwesige bwo bubeerenga mu Mukama.
20Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula
era ebikuwa okumanya?
21 nSikulaze ekirungi n’ekituufu,
olyoke obe n’eky’okuddamu eri oyo eyakutuma?

22 oTonyaganga mwavu, kubanga mwavu,
oba okutulugunyanga aleeteddwa mu mbuga.
23 pKubanga Mukama alibawolereza,
n’abo ababanyaga alibanyaga.

24Tokwananga muntu wa busungu,
oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu,
25 qoleme okuyiga amakubo ge
ne weesuula mu mitawaana.

26 rTeweegattanga ku abo abeeyama,
newaakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja.
27 sBw’oliba nga tolina kya kusasula
ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.

28 tTojjululanga nsalo
bajjajjaabo gye bassaawo edda.

29 uOmanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?
Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.
Copyright information for LugEEEE